Edward Bitanywaine Rugumayo yazaalibwa nga 18 Ogwekkumi n'ebiri munnabyabufuzi, omuteesa, omuwandiisi w'ebitabo era munnabutonde. Yaweerezaako nga Minisita mu bisanja bisatu. Okuva mu 1979 okutuuka mu 1980, Rugumayo yaweerezaako nga Ssentebe wa Uganda Legislative Council. Mu kiseera kino aweereza nga ssenkulu wa Yunivasite za Uganda bbiri. Mukugu mu byebimera era nga mukulumbeze wa bantu ba bulijjo.[1]
Rugumayo yazalibwa mu Kyenjojo District, kati emanyikiddwa nga Essaza lye Mwenge nga 18 Ogwekkumi ne bbiri1934.
Okuva mu P.1 okutuuka mu P.4 yasomera ku Mukole Primary School mu Disitulikiti ye Kyenjojo. Oluvanyuma yasomera ku Galihuma Primary School okuva mu P5 okutuuka P6. Ku kya S1 okutuuka mu S3, yasomera ku Kabarole Junior Secondary School, ate S4 okutuuka mu S6, yasomera ku Nyakasura School, mu Fort Portal. Yaweebwa ekifo okusomera mu Yunivasite y'e Makerere mu biseera bya 1950 naye yalekulira oluvanyuma lwa Ssetendekero obutamuwa ssomo lye yali ayagala; Yaweebwa bya bulimi newankubadde yali ayagala bya kutabula ddagala. Yaweebwa sikaala okugenda okusomera mu Amerikanaye yali ammiddwa paasipooti aba Gavumenti yabafuzi b'a matwale Abagereza. wabula mu1958, yaweebwa sikaala okusomera mu Bungereza. Yasoma Dipuloma mu byenjigiriza ku Chester College, era n'oluvanyuma kuUniversity of Liverpool. Oluvanyuma yasomera ku Yunivasite y'e Bungereza gyeyattikirwa Diguli eyobukugu mu byebimera ne mu nkula y'e bisolo.[2]
Rugumayo yakomawo mu Uganda mu 1966, yasomesaako katono e Kyambogo nga tanneeyunga ku Yunivasite y'e Makerere ng'akulira ekisulo kya Mitchell Hall. Mu 1971, Idi Amin yakulembera okuwamba Gavumenti ya Obote. Rugumayo yalondebwa nga Minisita ow'ebyenjigiriza ng'ayambibwako mukwano gwe Wanume Kibedi, munnamateeka gwe yali yasomako naye mu Bungereza era nga mukoddomi wa Idi Amin. Kibedi yalondebwa ku BwaMinisita w'e nsonga z'ebweru. Mu Gwokubiri 1973, omwaka gumu n'emyezi munaana ku mulimu, Rugumayo yayabulira olukiiko lwa Amin; era nafuuka Minisita eyasooka okwabulira akakiiko. Yagenda mu buwang'anguse mu Nairobi, Kenya, okutuusa mu 1979, Gavumenti ya Amin's lwe yagyibwako.
Oluvannyuma lw'eggye lya Uganda National Liberation Army (UNLA) ne Uganda National Liberation Front (UNLF) okukwata obuyinza mu Kampala, nga bayambibwako eggye lya Tanzania People's Defence Force (TPDF), Rugumayo yalondebwa ku bwassentebe w'akakiiko ek'ebuuzibwako aka National Consultative Council (NCC), mu Paalamenti ey'ekiseera. Rugumayo yali musaale mu kuggyako Yusuf Lule okuva mu buyinza, Lule bwe yalemererwa okukkiriziganya n'akakiiko ku mitendera emituufu egigobererwa mu kulonda bammemba mu kakiiko ka NCC. Lule yasikizibwa Godfrey Binaisa. Mu Gwokutaano 1980, nga Rugumayo akyali mu Arusha, Tanzania, obukulembeze bwa Binaisa nabwo bwawambibwa. Mu kaseera kano Rugumayo yasigala mu buwang'anguse okutuusa mu 1992. Mu mwaka ogwo, yakomawo mu Uganda ne yeeyunga ku kibiina kya National Resistance Movement obukulembeze bwa Yoweri Museveni.[3]
Abaddeko mu bifo binno wammanga mu Gavumenti ya Uganda , ebitongole byensi yonna ssaako Yunivasite ez'enjawulo:[4]
Mu 2005, mu kulondebwa kw'akakiiko akapya, Rugumayo yalondebwa nga ambasada wa Uganda e Bufalansa kyokka ekifo n'akigaana.
Rugumayo yatandikawo ekifo kya Tooro Botanical Gardens, ekitudde ku yiika 40, ekibira eky'emiti ginnansangwa. Eno ye botanical gardens yokka mu Uganda, ng'oggyeeko eya Gavumenti eya Entebbe Botanical Gardens esangibwa Entebbe, ku mbalama z'ennyanja Nalubaale. Era alina ne ffaamu omuli ente ez'amata n'ebimera eya yiika 49 ng'eno alundirayo n'enjuki.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)