Julia Sebutinde

Julia Sebutinde

 

Julia Sebutinde mulamuzi Munayuganda ali mukuwereza ekisanja kye eky'okubiri mu Kkooti y'Ensi Yonna oluvanyuma lw'okuddamu okulondebwa mu Mweezi gw'ekumin'ogumu 2, 2020. Y'akulira Yunivasite ya Muteesa I Royal Yunivasite , Yunivasite yo Obwakabaka bwa Buganda. abadde mulamzi wa kkooti okuva mu gw'okusatu 2012. Ye mukazi asoose okuva ku Ssemazinga wa Africa okukola ne kkooti y'Ensi yonna.[1][2] Nga tanalondebwa kukola na kkooti ya Nsi yonna, Sebutinde yali mulamuzi wa Special Court for Sierra Leone. Yalondebwa kw'ekyo ekifo mu 2007.

Yazalibwa mu Kitundu kya Massekati ga Uganda omukozi wa gavumenti n'omukyaala wewaka ba Semambo. Yasomera ku somero lya Lake Victoria Primary School Entebbe mu myaaka gya 1960.[3] Bweyava eyo yegatta ku Gayaza High School n'oluvanyuma King's College Budo, nga tanaba kwegatta ku Makerere University okusoma amateeka. Sebutinde yatikkirwa Digiri mu Mateeka mu 1977. Yafuna Dipiloma mu kukola amateeka okuva ku Law Development Center mu Kampala mu 1978. Yasaba okwegatta ku Edinburgh Law School, University of Edinburgh okusoma Digiri ye ey'okubiri Mateeka n'atikiirwa mu 1991. Mu 2009, wakati mukusimibwa olw'emirimu gye n'etaofaali lyeyassa kukutumbula obwenkanya munsi yonna yawebwa Digiri y'ebyamateeka Doctor of Laws okuva mu University of Edinburgh.

Ebyafaayo by'emirimu gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Julia Sebutinde yasooka kukola mu minisitule y'ebyamateeka mu Gavumenti ya Uganda okuva 1978 okutuusa mu 1990. Nga yakamala okutikirwa mu Yunivasite ya Edinburgh mu 1991 yakolera mu minisitule y'amawanga agaliiko amatwala ga Bungereza mu United Kingdom. Oluvanyuma yegatta ku minisitule y'ebyamateeka mu Ggwanga lya Namibia eyali yakafuna obwetowaze mubiseera ebyo mu 1996 yalondebwa okubeera Omulamuzi wa kkooti enkulu eya Uganda. Mukifo ekyo yali akulira obukiiko busatu obunonyereza obukwatagana ku bitongole bya Gavumenti bino wamanga:

Mu kkooti eyenjawulo ku Sierra Leone

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2005 Omulauzi Julia Sebutinde yalondebwa, olw'okusembebwa gavumenti ya Uganda okutuula eyali eteredwawo ekibiina ky'amawanga amagatte ki United nations okutunulira e Ggwanga lya Sierra Leone. ouvanyuma yalondebwa okubeera omulamuzi w'akasenge ka kkooti ake 11, mukiseera ekyo nga avunnanyizibwa okuwulira omusango ogwali guvunaniba eyali omusajja owamaanyi e Liberia, Charles Taylor. Mukifo ekyo yagaana okwetaba mu kuwulira omusango gw'okukwasisa empisa puliida wa Charles Taylor ekintu ekiyisa olugaayu mu nkola yabanamateeka kyoka teyatekebwako kakwakulizo kona okuva eri Special Court for Sierra Leone.[4][5]

Mu kkooti y'Ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kulonda kw'abalamuzi ba kkooti y'Ensi yonna okwa 2011 ICJ judges election, 2011,[6] Sebutinde yali omu ku munaana abali bavuganya okujjuza ebifo bitano ebyabalamuzi ba Kkooti y'Ensi Yonna ku, oluvanyuma lw'okulondebwa ebibinja by'ensi ya Croatia, Denmark, ne Uganda in mu Permanent Court of Arbitration.[7] Mu kulonda, omuwangula aba yetaaga okuwangula United Nations General Assembly ne mu United Nations Security Council.[8] Olunaku olwasooka olw'okulonda, bana bebalondebwa okujjuza ebifo lwakuba ekifo eky'okutaano tekyajuzibwa.[9] Okulonda bwekwayongezebwayo, Abdul Koroma, eyakirimu okuva e Sierra Leone, yali afunye obululu mwenda ku bululu e 15 mu lukiiko lw'ebyokwerinda, ku bululu omunaana obwali bwetagisa okulondebwa. Mu Lukiiko lwa bonna "General Assembly", oluvanyuma lw'okulonda emirundi etaano, Julia Sebutinde, eyali yesimbyewo omulundi ogusooka yali afunye obululu 97 ku bululu 193 ku bululu 97 obwali bwetagibwa okulondebwa.[10][11] Okusuula akalulu bwekwaddamu nga 13 Ogwe Kkumineebiri 2011, Sebutinde yawangula mu Lukiiko lw'ebyokwerinda ne Plamenti ya bonna, era n'alangirirwa okubeera nga y'alondedwa.[12]

Obuvunanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Julia Sebutinde mufumbo eri John Bagunywa Sebutinde nga balina abawala babiri. Kigambibwa nti ayagala nnyo ennyimba, omupiira wamu n'okuwuga. Awomerwa nnyo emmeere y'Abayindi n'emmere y'ebirungo. Omulamuzi Sebutinde ye Senkulu wa Yunivasite ya International Health Sciences University, mu Kampala, ekifo ky'aabaddemu okuva mu 2008.[13]

Gyebisimbulizidwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1289640/-/bg3qr9z/-/
  2. http://www.thehabarinetwork.com/julia-sebutinde-first-african-woman-sworn-in-as-judge-of-un-court
  3. https://web.archive.org/web/20140809005543/http://www.newvision.co.ug/D/9/35/645211
  4. http://opiniojuris.org/2011/02/27/judge-refuses-to-attend-taylor-lawyers-disciplinary-hearing/
  5. https://www.theguardian.com/law/2011/mar/02/charles-taylor-trial-disciplinary-sebutinde
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-17. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/Secretary-General_of_the_United_Nations
  8. https://undocs.org/S/2011/452
  9. http://www.panapress.com/UN-Security-Council-elects-4-new-iCC-judges--13-804689-18-lang2-index.html
  10. https://www.un.org/News/Press/docs/2011/sc10444.doc.htm
  11. https://www.un.org/News/Press/docs/2011/ga11171.doc.htm
  12. https://en.wikipedia.org/wiki/United_Nations
  13. https://web.archive.org/web/20140720232123/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/642691

Obuyunzi bwebweru

[kyusa | kolera mu edit source]