Juuko yazaalibwa Entebbe, mu disitulikiti y'e Wakiso. Azannyidde ttiimu z'e Uganda, Bunamwaya ne SC Victoria University nga tannagenda Tanzania okuzannyiraa Simba.
Juuko yeegatta ku Express FC mu 2020 ku ndagaano ya mwaka gumu.
Juuko yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu ya Uganda ey'eggwanga (eyitibwa "Cranes") nga 11 Ogwomusanvu 2014 nga battunka ne ttiimu y-eggwanga lya Seychelles. Ttiimu y'eggwanga lya Uganda yawangula ku ggoolo 1-0.
Juuko yakulembera Cranes okutuuka ku mpaka ez'akamalirizo ez'ekikopo kya Afirika omulundi gwayo ogusooka okuva mu mwaka gwa 1978. Yali mu ttiimu eyawangula Comoros ku ggoolo 1-0 okukiika mu mpaka ez'akamalirizo eza 2017 mu Gabon. Oluvannyuma lw'okusubwa omupiira ogwasooka nga bazannya ne Ghana olw'ekibonerezo kye yafuna mu mpaka z'okusunsulamu, yazannya eddakiika 180 nga battunka ne Misiri kw'ossa Mali.
Mu mpaka z'ekikopo kya Africa eza 2019 Juuko yazannya emipiira ebiri, ogwasooka nga bazannya ne DR Congo ate omulala nga bazannya ne Senegal oluvannyuma lw'okufuna obuvune ku kisambi. Uganda Cranes empaka yaviiramu ku luzannya lwa 16 abasembayo.
Ttiimu y'eggwanga | Omwaka | Emipiira | Ggoolo |
---|---|---|---|
Uganda | 2014 | 1 | 0 |
2015 | 8 | 0 | |
2016 | 9 | 0 | |
2017 | 7 | 0 | |
2018 | 6 | 1 | |
2019 | 6 | 0 | |
2021 | 2 | 0 | |
Omugatte | 39 | 1 |
No. | OEnnaku z'omwezi | Enfo | Omulabe | Ebyavaamu | Ekivuddemu | Empaka |
---|---|---|---|---|---|---|
1. | 24 Ogwokusatu 2018 | Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Bweyogerere, Uganda | São Tomé and Príncipe | Mu ngeri y'emu n'eyitibwa | 31 Mu ngeri y'emu | Gwa mukwano |
Vipers
SC Victoria University
Simba
Template:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2017 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2019 Africa Cup of NationsTemplate:Uganda squad 2019 Africa Cup of Nations